{"id":108,"date":"2019-04-11T08:46:24","date_gmt":"2019-04-11T08:46:24","guid":{"rendered":"https:\/\/demo.themespiral.com\/freenews\/?p=108"},"modified":"2025-11-24T14:31:21","modified_gmt":"2025-11-24T14:31:21","slug":"kabaka-atukoze-bulungi-mu-byobulamu-nebyenjigiriza","status":"publish","type":"post","link":"https:\/\/essazascandinavia.com\/index.php\/2019\/04\/11\/kabaka-atukoze-bulungi-mu-byobulamu-nebyenjigiriza\/","title":{"rendered":"Kabaka Atukoze Bulungi mu Byobulamu n\u2019Ebyenjigiriza"},"content":{"rendered":"\r\n<p><strong>Bya Frobisher Mujuzi<\/strong><\/p>\r\n<p><strong>Mmengo \u2013 Kyaddondo<\/strong><\/p>\r\n<p>Tweyanza Ssaabasajja Kabaka, olw\u2019okubeera omusaale mu kutumbula ebyenjigiriza n\u2019ebyobulamu mu Ggwanga lyaffe.<\/p>\r\n<p>Leero abantu ba Buganda okuva mu ggombolola Kampala Masekati; Kyampisi Kyagwe; ne Kyanamukaaka Ssaabagabo; omuli ne Minista wa Kampala, Minsa Kabanda, Lord Meeya Erias Lukwago n\u2019akulira ekitongole kya KCCA Muky. Sharifah Buzeki, bakiise embuga mu nkola y\u2019oluwalo era baleese ensimbi ezisoba mu bukadde 60.<\/p>\r\n<figure class=\"wp-block-image size-large\"><img loading=\"lazy\" decoding=\"async\" class=\"wp-image-23509\" src=\"https:\/\/gambuuze.ug\/wp-content\/uploads\/2025\/11\/IMG-20251118-WA0500-1024x682.jpg\" alt=\"\" width=\"1024\" height=\"682\" \/><\/figure>\r\n<p>Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, akiikiridde Katikkiro mu kutikula oluwalo, yebaziza abantu okujjumbira oluwalo, ky\u2019agambye nti kizzaamu amaanyi nti emirimu gy\u2019Obwakabaka gijja kwongera okutambula.<\/p>\r\n<p>Minisita Nakate yebazizza abazadde, okuteekateka abaana okutuula P.7 ne s4 kyokka n\u2019awabula nti ebibalo biraga abaana ebitundu 39 ku buli kikumi bokka be beyongerayo ku mutendera ogwa siniya ky\u2019agambye nti kitiisa nnyo kubanga kiraga nti baana bawanduka mu masomero nga tebamazeeko, bwatyo abakubirizza abazadde okufuba ku albaana bamalirize emisomo. Asabye n\u2019abazadde obutakoowa ku baana, bababeeere kumpi, mu luwummula luno oluwanvu obutabeera mu bitabagasa.<\/p>\r\n<p>Minisita Nakate awadde eddoobozi ku mbeera y\u2019ebyobufuzi eriwo; \u201ctuleme kukozesa bigambo bibi, na kuyuza bifaananyi bya bannaffe, wabula twagala okulaba okulonda okulimu obumu n\u2019obwagazi eri ensi yaffe, Uganda!\u201d.<\/p>\r\n<figure class=\"wp-block-image size-large\"><img loading=\"lazy\" decoding=\"async\" class=\"wp-image-23507\" src=\"https:\/\/gambuuze.ug\/wp-content\/uploads\/2025\/11\/IMG-20251118-WA0478-1024x682.jpg\" alt=\"\" width=\"1024\" height=\"682\" \/><\/figure>\r\n<p>Abakulembeze, ab\u2019enjawulo mu bubaka bwabwe beeyanzizza Maasomoogi olw\u2019okukulemberamu obuteerevu enteekateka z\u2019ebyobulamu n\u2019ebyenjigiriza nga bagamba singa si ye, abantu n\u2019abakulembeze mu kibuga kya Kampala bandibadde ku buzito bwa maanyi okutuusa ku bantu obuweereza obujjuvu.<\/p>\r\n<p>Omumyuka wa Ssebwana Kayongo Vincent akulembeddemu abakiise Embuga yebazizza abantu ba beene olw\u2019okukiika embuga n\u2019abakuutira okwegendereza ebiseera by\u2019ebyobufuzi obutabiganya kubawulayawula banywerere ku Kabaka era batunuulire ekiruubirirwa ekikulu eky\u2019okuzza Buganda ku ntikko.<\/p>\r\n","protected":false},"excerpt":{"rendered":"<p>Bya Frobisher Mujuzi Mmengo \u2013 Kyaddondo Tweyanza Ssaabasajja Kabaka, olw\u2019okubeera omusaale mu kutumbula ebyenjigiriza n\u2019ebyobulamu mu Ggwanga lyaffe. Leero abantu ba Buganda okuva mu ggombolola Kampala Masekati; Kyampisi Kyagwe; ne &hellip; <a href=\"https:\/\/essazascandinavia.com\/index.php\/2019\/04\/11\/kabaka-atukoze-bulungi-mu-byobulamu-nebyenjigiriza\/\" class=\"more-link\">Read More<\/a><\/p>\n","protected":false},"author":1,"featured_media":298,"comment_status":"closed","ping_status":"closed","sticky":false,"template":"","format":"standard","meta":{"footnotes":""},"categories":[15,20],"tags":[],"class_list":["post-108","post","type-post","status-publish","format-standard","has-post-thumbnail","hentry","category-local-news","category-stories","entry"],"_links":{"self":[{"href":"https:\/\/essazascandinavia.com\/index.php\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/108","targetHints":{"allow":["GET"]}}],"collection":[{"href":"https:\/\/essazascandinavia.com\/index.php\/wp-json\/wp\/v2\/posts"}],"about":[{"href":"https:\/\/essazascandinavia.com\/index.php\/wp-json\/wp\/v2\/types\/post"}],"author":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/essazascandinavia.com\/index.php\/wp-json\/wp\/v2\/users\/1"}],"replies":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/essazascandinavia.com\/index.php\/wp-json\/wp\/v2\/comments?post=108"}],"version-history":[{"count":2,"href":"https:\/\/essazascandinavia.com\/index.php\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/108\/revisions"}],"predecessor-version":[{"id":299,"href":"https:\/\/essazascandinavia.com\/index.php\/wp-json\/wp\/v2\/posts\/108\/revisions\/299"}],"wp:featuredmedia":[{"embeddable":true,"href":"https:\/\/essazascandinavia.com\/index.php\/wp-json\/wp\/v2\/media\/298"}],"wp:attachment":[{"href":"https:\/\/essazascandinavia.com\/index.php\/wp-json\/wp\/v2\/media?parent=108"}],"wp:term":[{"taxonomy":"category","embeddable":true,"href":"https:\/\/essazascandinavia.com\/index.php\/wp-json\/wp\/v2\/categories?post=108"},{"taxonomy":"post_tag","embeddable":true,"href":"https:\/\/essazascandinavia.com\/index.php\/wp-json\/wp\/v2\/tags?post=108"}],"curies":[{"name":"wp","href":"https:\/\/api.w.org\/{rel}","templated":true}]}}