Katikkiro Mayiga Akyazizza Abawagizi ba SC Villa: Akoowodde Bannabyamizannyo Okukuuma Empisa
a Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Abawagizi ba ‘SC Villa Team Bikolwa’ bakiise Embuga ne bawaayo oluwalo okuwagira emirimu gy’Obwakabaka ne basiima ne Katikkiro Mayiga olw’obuwagizi obukwafu eri ttiimu ya Villa.
Katikkiro Charles Peter Mayiga bano abaanirizza mu ssanyu n’ategeeza nti yatandika okuwagira Villa mu 1982 nga alabira ku mukulu we Andrew Kaggwa omuwagizi lukulwe owa kiraabu eno era eyabeeranga ne bendera, emijoozi, n’ebintu eby’enjawulo ebya Villa awaka. Agamba awo naye wajja obwagazi bwa kiraabu ate nga kuva dda nga ttiimu mpanguzi.

Katikkiro Mayiga obubaka bwe obukulu mu nsisinkano na Banna-Villa bano, akubirizza Bannabyamizannyo okukuuma empisa okusobola okulaba nga ebyemizannyo mu Uganda bikula ng’annyonnyola nti kubanga ababifunamu ssente bangi, bisaana okukuumirwa ku mutindo n’ekifaananyi ekirungi.
“Amateeka agafuga ebyemizannyo gali 4, empisa, empisa, empisa era empisa; empisa mu bazannyi, abawagizi, abalamuzi, n’abaddukanya emizannyo egy’enjawulo” Katikkiro Mayiga.
Owek. Mayiga agamba nti buli muntu ali mu by’emizannyo bw’agoberera amateeka gano, e yemizannyo bijja kukula. Ategeezezza nti emabegako ekyamugoba ku kulaba emipiira ku bisaawe be bawagizi abalwanalwana, abakasuka obucupa n’okuwemula, nti bano batta ekifaananyi ku’emizannyo era bagoba abawagizi mu bisaawe n’abavujjirizi. Bwatyo akoowodde abawagizi b’emizannyo okubeera n’empisa, era badde mu bisaawe okulaba emipiira gya ttiimu zaabwe.
Owoomumbuga yebazizza aba SC Villa ttiimu bikolwa olw’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka nga bayita mu nkola y’oluwalo n’okugula emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka. Abeebazizza n’ebirabo bye bamuwadde okuli; omujoozi gwa Villa, omuddaali, n’amantambutambu.

Ye Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda Owek. Robert Serwanga atotodde olugendo lwa Villa mu byafaayo by’omupiira mu Uganda era n’asanyukira abawagizi ba SC Villa ttiimu bikolwa okuba nti mu myaka 50 kiraabu yaabwe gy’emaze basobodde okunyweza obumu n’okuwagira ttiimu yaabwe era nga be basookedde ddala okukiika Embuga ng’abawagizi ba ttiimu ya Liigi ya Uganda.
Owek. Serwanga bano abasabye okuteeka obukulembeze bwa ttiimu yaabwe ku nninga okusosoowaza ebyo ebirina okukolebwa ttiimu yaabwe edde ku ntikko, omuli okunnyikiza empisa mu buwagizi n’okwongera okufuna abawagizi b’omutindo, era yebazizza obukulembeze bwa Villa olw’okukubirizanga abazannyi baayo okwetaba mu mipiira gy’Ebika.
Hajj Farouq Meywa akuliddemu aba SC Villa ttiimu bikolwa yebazizza nnyo Katikkiro olw’omutima gw’alina eri ttiimu ya SC Villa ng’agamba nti kino kirabikira mu bigambo bye ate n’ebikolwa. Hajj Meywa agamba nti bwe basisinkana abantu nga Katikkiro abaagala ttiimu yaabwe baasanidde okubeebalizza ddala.
Hajj Meywa aloopedde Katikkiro nti ttiimu yaabwe yeetaga obukulembeze obuggumivu okusobola okutuuka ku buwanguzi buli mwaka era ono yesowoddeyo okuvuganya ku ntebe eya waggulu mu ttiimu eno. Ono agamba nti mwenyamivu olw’okuba nti ebintu ebisinga mu Villa bikyatambulira mu nkola enkadde era yeyamye okukwatira awamu okutuukiriza omulamwa gw’okuzza ebintu byonna ebikolebwa ttiimu yabwe mu nkola eya tekinologiya era ey’omutindo.
Sports Club Villa abangi gye bamanyi nga ‘Villa Jogo Ssaalongo’ y’emu ku ttiimu ez’amaanyi mu Uganda nga bano balina ebikopo 17 ebya liigi, abya Uganda Cup 9, ebya CECAFA 3, ate nga ezze efulumya abazannyi ab’enjawulo ku ttiimu y’eggwanga.

