Obukulembeze bw’abaliko obulemu mu Mawokota butongozeddwa

a Francesca Naluwugge

Butoolo – Mawokota

Minisita w’ekikula ky’abantu mu Buganda Owek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja atongozza obukulembeze bw’abaliko obulemu mu Mawokota bw’abadde ku mbuga y’essaza Mawokota e Butoolo.

Owek. Nkalubo asabye abakulembeze b’abaliko obulemu mu Ssaza Mawokota okukola ebibalo by’abantu ba Kabaka abawangaalira mu Ssaza nga baliko obulemu mu biti eby’enjawulo.

Akubirizza abakulembeze okukola ku kaweefube ono okulaba nga abantu abo bamanyibwa omuwendo nga kyesigamiziddwa ku buli omu ekika ky’obulemu ky’alina era nga baawuddwamu, olwo ebibalo bino bituusibwe mu Bwakabaka kiyambe Obwakabaka okulondoola ebibalo ebyo n’ekigendererwa eky’okutumbula enkulaakulana mu bantu ba Kabaka.

Minisita Nkalubo obukulembeze bw’atongozza buviira ddala ku byalo, era ku mukolo guno agguddewo n’omusomo ogwategekeddwa nga gwetooloolera ku miramwa egy’enjawulo egigasa abaliko obulemu.

Akuuma entebe ya Kayima, Hajj Hassan Kagga Kasujja akubirizza abazadde abazaala abaana nga baliko obulemu okubayisa ng’abaana abalala oba okubasoosowaza ennyo kubanga baba beetaaga okubudaabuda nabo okusobola okuba mu mbeera eyeyagaza nga abalala.

Ye atwala ekitongole ky’Abaliko obulemu mu Ssaza Muky. Kinene Betty ayanjudde Alipoota kw’ebyo ebikolebwa mu bukulembeze bwabwe omuli okudduukirira abantu abaliko obulemu wakati mu kuyambibwako ebitongole eby’enjawulo. Era ategeezezza nga bwe bafuna okusoomoozebwa kw’okuboolebwa mu bantu be babeera nabo mu bitundu naye kino tekibamazeemu maanyi era basigala tebekkiriranya.