Obwakabaka bukungubagidde Omukama wa Tooro
Obwakabaka bukungubagidde Omukama wa Tooro
Eggwanga lyafunye obubaka obw’entiisa obw’okufa kwa Omukama wa Tooro Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV nga 28 Muwakanya 2026 nga ono kigambibwa nti abadde mukosefu okumala akabanga.
Obwakabaka okuyita mu Katikkiro Charles Peter Mayiga, bukubagizza Obukama bwa Tooro olw’entiisa ennene ebaguddeko n’alaga okunyolwa olw’omukulembeze abadde akyali omuto bw’atyo okufa, nga n’abantu be ab’e Tooro babadde bamulinamu essuubi
” Omukama abadde akyali muto kubanga yazaalibwa mu 1992 era Tooro yonna ebadde emulinamu essuubi ddene naye ne Uganda okutwaliza awamu ku nsonga zeby’enkulaakulana ” Katikkiro Mayiga bwakubagizza.
Oweekitiibwa Mayiga ategeezezza nti enkolagana y’Obwakabaka ne Tooro ya mugundu kubanga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yalondebwa nga omu ku bakuza b’Omukama Oyo Nyimba Rukidi IV, eyatuuzibwa ku bukulembeze nga akyali muto ekyayongera okugatta abakulembeze b’Ennono abo ababiri n’okukulembera mu ngeri ey’enjawulo.
Kamalabyonna asabye abantu b’Obukama bwa Tooro bonna okusigala kimu naddala mu kiseera kino eky’okusoomooza okw’amaanyi nga balindirira okulungamizibwa okuva ewa Omuhikirwa wa Tooro ku nteekateeka zonna ezinaddira ku kugenda kw’Omukama.


