Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Ssaza Scandinavia, Oweek. Nelson Mugenyi, ssabbiiti agikwatidde mu kkanisa y’Abadiventi bannayuganda ab’enzikiriza eno mu kibuga Stockholm mwebasinziira okutendereza n’okukowoola Omutonzi.

Eno Oweek Nelson Mugenyi yayitiddwa aba Ugandan Adventists in Scandinavia, ekibiina ekigatta bannayuganda Abaadiventi, okuyita mu ssabbiiti wamu n’okubawayo obubaka obuva embuga.
Mu kwogera kwe, Oweek Mugenyi abannyonnyodde ebikolebwa mu Ssaza Scandinavia wamu n’ebifa embuga era n’abakubiriza okwenyigira mu bikolebwa mu Ssaza wamu n’ensonga za Buganda.
Omusumba Laura ne Muky. Lydia Kulaba akulira UGAD basiimye Omubaka wa Kabaka okubakyalira nekibongera okunyweza obumu n’obwa sseruganda.
Oluvannyuma lw’okusaba aba UGAD basembezza Omubaka ku ky’eggulo mu maka g’omwami Patrick n’Omukyala Hellen Yawe.