Essaza Scandinavia liyozaayozezza Dr. Irene Nagawa Bisaso
Essaza Scandinavia liyozaayozezza Dr. Irene Nagawa Bisaso olw’okukoonola digiri y’obwa pulofeesa mu bitabo (PhD), okuva ku Norwegian University of Science and technology e Norway.
Dr. Irene Nagawa Bisaso y’akulira ekitongole ky’Abaana mu kibiina kya Buganda e Norway ki “Buganda Samfunnet I Norway ”
Ku lw’Essaza lya Kabaka Scandinavia, Oweek Nelson Mugenyi, alamulirako Beene essaza lino, agambye buno obuwanguzi bwa maanyi nnyo era bulaga obumalirivu, okwewayo n’okukola ennyo okwa Dr. Nagawa ekimuyambye okutuuka ku mutendera guno. Nga Essaza, beenyumiriza nnyo mu buwanguzi buno era basanyufu olwa Nagawa okutuuka ku ddaala lino ery’omuwendo.
Oweek Mugenyi era yebazizza Dr. Nagawa olw’okuteekawo eky’okulabirako ekirungi eri abalala n’agamba nti obuwanguzi buno busaana bubeere kisumuluzo ekiggula emikisa emirala mingi.
Tukuyozaayoza nnyo munnaffe.



