Essaza Scandinavia litandise kaweefube w’okulambula bannayuganda abalimi mu Sweden
Essaza Scandinavia litandise kaweefube w’okulambula bannayuganda abalimi mu Sweden
Abalimi aboogerwako be balimira awafunda okugeza, ku mbalaza, mu nnyumba munda, era nga balima ebintu ebyangu okulabirira.
Enteekateeka eno ewoomeddwamu omutwe Muky. Beatrice Kiwanuka akulira ekitongole ky’Abakyala n’Abaana mu Ssaza Scandinavia. Kaweefube ono amutandikidde mu kibuga Stockholm ekya Sweden nu maka ga Mukyala Harriet Mirembe, ono alima ennyaanya, obumonde, mint, Bezel, ddoodo, ebijjanjaalo n’ebiringa ebyo nga alimira ku lubaalaza (balcony) ssaako n’okukola nakavundira.
Oluvannyuma alambudde Omubaka wa Kabaka ow’essaza Scandinavia, Oweek Nelson Mugenyi n’Omukyala Sarah Birungi. Bano mu lujja lwabwe mwe basinziira okulimira ennyaanya, entuntunu, obumonde, cucumber, strawberries, n’ebirala.
Bw’abadde alambula abalimi bano, Muky. Beatrice Kiwanuka yebazizza abalimi bano olw’okuteeka mu nkola kaweefube w’Obwakabaka akubiriza abantu okutandika n’ekitono olwo kigende nga kikula bafunemu ekinene era nga ekisinga obukulu bwe butatuulira kirowoozo.
Oweek Nelson Mugenyi, Omubaka wa Kabaka amulamulirako e Ssaza Scandinavia, asanyukidde ekirowoozo kino eky’okulambula abalimi era alina essuubi nti omwaka ogujja abalimi abawerako bajja kwetaba mu nteekateeka eno.
Mu kulambula kuno, Muky. Beatrice Kiwanuka awerekeddwako Muky. Joyce Kasolo ne Mw. Stellan Björk



