BUGANDA SOCIETY NORWAY ERONZE ABAKULEMBEZE ABAPYA
OSLO, Norway: Bannakibiina kya Buganda Society in Norway, ekigatta Abaganda n’emikwano gya Buganda ababeera mu Norway, baakubye olukungaana lwa bonna ne balonda abakulembeze abapya abagenda okukulembera ekibiina mu kiseera ekiddako.
Okulonda kwabadde mu kibuga Oslo ku Lwomukaaga nga 12 September 2026, era Mukyala Ntongo Jesca ye yalondeddwa okukulembera olukiiko olupya.
Ku mukolo guno, Mukyala Joyce Kasolo, eyakiikiridde Owekitiibwa Mugenyi Nelson, Omwami w’Essaza lya Kabaka erya Scandinavia, yatuusizza obubaka bwa Owekitiibwa Mugenyi eri ab’e Buganda abali mu Norway.
Mu bubaka bwe, Owekitiibwa Mugenyi yeebazizza nnyo olukiiko oluvuddeko olw’omulimu gwe lwakoze mu kukulembera n’okutambuliza ekibiina. Yasabye abakulembeze abapya okwongera amaanyi mu kukunga Abaganda ababeera mu Norway, n’okubazzaamu amaanyi mu kukuuma n’okutumbula ennono, obuwangwa n’obulamu bwa Buganda.
Owekitiibwa Mugenyi era yakubirizza abakulembeze abapya okukola obulungi okusobola okunyweza enkolagana wakati w’Abaganda, n’okukuuma obumu bwabwe nga bali ebweru w’eggwanga.
Mu kwogera kwe, Ssentebe eyavuddeko Omukungu Muweesi Hannington yasabye abakulembeze abapya obutatabika nsonga za bufuzi bw’ekibiina n’ebyobufuzi by’eggwanga. Yagambye nti obukulembeze bw’ekibiina bulina okukulembera abantu bonna awatali kusosola.
Omukungu Muweesi yasabye abakulembeze abapya okwewala okwawulamu abantu olw’endowooza zaabwe mu byobufuzi oba olw’enzikiriza zaabwe, ng’agamba nti Kabaka wa bantu bonna.
Yabakubirizza okukuuma obumu n’okukolera awamu, ng’ekigendererwa kwe kutumbula Buganda n’okunyweza obumu bw’Abaganda ababeera mu Norway.
Olukiiko olupya kati lusuubirwa okutwala omulimu mu maaso nga lwongera amaanyi mu kukunga Abaganda, okukuuma ennono n’obuwangwa, n’okutumbula enkolagana wakati w’Abaganda ababeera mu Norway.

